Engeri Ekibi Gye Kyayingira Mu Nsi

Twamala okulaba nti olubereberye Adamu ne Kaawa babeeranga mu lusuku lwa Paradise nga balina buli kimu ekibasanyusa. Ekyaali kisinga obulungi mu byonna nti Mukama Katonda yabakyaliranga buli lunaku. Yali ayagala nnyo okuba n’enkolagana ey’amakulu nabo. Kyokka Ebyawandiikibwa bitugamba nti waliwo omulala mu lusuku. Yali ani?