Katonda Ayogedde!
-
Matthew 5:6
Close
Katonda Afaanana Atya?
Mu pulogulamu zino tujja kubabuulira ebyafaayo bya Bannabbi ba Katonda. Era tuteekateeka okuyitayita mu Byawandiikibwa Ebitukuvu Bannabbi abo byebawandiika; ebiraga ekkubo ery’obutuukirivu, Katonda lye yalagira okusobozesa abantu okubalibwa nga abatuukirivu mu maaso ge.
Setaani ne Bamalayika
Olwaleero tutandika essomo lyaffe ery’okusatu mu Byawandiikibwa bya Bannabbi. Twagala okulaba Ekigambo kya Katonda kye kitugamba ku bamalayika ne Setaani. Omanyi wa bamalayika gye bava? Oba Setaani ne zi dayimoni gye biva?
Engeri Katonda Gye Yakola Ensi
Ebyawandiikibwa bigamba ki ku ngeri Katonda gye yatondamu ensi?
Lwaki Katonda Yatonda Omuntu?
Olwaleero twagala twekkaanye Ebyawandiikibwa n’okuyiga tuyige engeri Katonda gye yatondamu omuntu eyasooka. Katonda ng’atuyambye twagala era tutegeere lwaki Katonda yatonda omuntu.
Adamu ne Kaawa n’Olusuku
Katonda bwe yamala okutonda omuntu eyasooka, yalina ebintu ebirala eby’okukola nga tannawummula. Emirimu gino gye twagala tuyigeko olwaleero. Katweyongereyo mu Tora mu kitabo ky’Olubereberye mu ssuula ey’okubiri tutandikire ku lunyiriri olw’omusanvu n’olw’omunaana.
Engeri Ekibi Gye Kyayingira Mu Nsi
Twamala okulaba nti olubereberye Adamu ne Kaawa babeeranga mu lusuku lwa Paradise nga balina buli kimu ekibasanyusa. Ekyaali kisinga obulungi mu byonna nti Mukama Katonda yabakyaliranga buli lunaku. Yali ayagala nnyo okuba n’enkolagana ey’amakulu nabo. Kyokka Ebyawandiikibwa bitugamba nti waliwo omulala mu lusuku. Yali ani?
Ekibi Ky’Adamu Bye Kyazaala
Adamu ne Kaawa basooka kukola ki nga bamaze okujeemera Katonda?
Ekisuubizo Eky’ekitalo
Nga bwe tumaze okukiyiga nti Katonda mutukuvu era ateekwa okusalira abonoonyi omusango. Kyokka olwaleero tujja kulaba mu Byawandiikibwa, engeri Katonda Omutukuvu gye yakolamu entegeka okununula abonoonyi okubawonya ekibonerezo ky’ekibi. Tujja kuvumbula nti Katonda si mutukuvu butukuvu naye ate ye Katonda Ow’ekisa. Kale bw’atyo Katonda omulamuzi waffe y’omu ayagala okufuuka Omulokozi waffe.
Kayini ne Abiri: Ekkubo Ery’okusaddaaka
Katwekenneenye ekyatuukawo. Abantu babiri bayagal okusinza Katonda. Bombi baaleeta saddaaka zaabwe eri Katonda. Kyokka ebyawandiikibwa bigamba nti, Mukama n’akkiriza Abiri ne ky’awaddeyo: naye Kayini ne ky’awaddeyo teyamukkiriza.” Lwaki Katonda yakkiriza saddaaka ya Abiri n’agaana eya Kayini. Waliwo njawulo ki wakati wa saddaka ezo ebbiri?
Kayini Muteenenya
Olwaleero twagala tufundikire ebikwata ku Kayini ne Abiri. Omanyi ekyatukawo nga Katonda amaze okugaana ssaddaaka ya Kayini? Mu Oluberyeberye 4:5 Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Kayini n’asunguwala nnyo, amaaso ge negoonooneka.” Lwaki Kayini yasunguwala?